Amawulire

Emikolo gya Terehesita Gigenda mu maaso

Ali Mivule

February 6th, 2015

No comments

katumba

W’owulirira bino nga emikolo emikulu egy’amagye egya Tarehe Sita egy’omulundi ogwa 34  gitandise wali mu disitulikiti ye Moroto.

Abakungu ba gavumenti okuli ne ssabaminisita w’eggwanga  Dr. Ruhakana Rugunda, akola nga ssabalamuzi mu kiseera kino Steven Kavuma n’abalala  batuuse dda ewali emikolo gino.

Yye ssabaduumizi w’eggye ly’eggwanga Gen Katumba Wamala ategezezza nga bannayuganda bwebasanye okwenyumiriza mu ggye eririwo kati olw’emirigu lyegikola.

Ategezezza nga UPDF bweyava mu NRA nga eggye eryempisa era erikolagana ne bannayuganda bonna sso ssi abantu b’olubatu.

Katumba era azzemu okukkatiriza nti yadde nga UPDF eyamba okukuuma emirembe ku muliraano, tebalina kigendererwa kyakusindika magye mu Nigeria kulwanyisa bakambwe ba Boko Haram.

Anyonyodde nti amawanga mu bugwanjuba bwa Africa galina amagye gaayo ag’omukago aghasobola okwanganga abakambwe bano sso ssi UPDF.