Amawulire

Emirambo 14 gyegyakanyululwa mu Nyanja

Emirambo 14 gyegyakanyululwa mu Nyanja

Ivan Ssenabulya

August 7th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu, 

Poliisi etegeezezza nti n’okutuusa kati emirambo 14 gye giggyiddwa mu nnyanja Nalubaale oluvannyuma lw’ekikangabwa ekyagwawo wiiki ewedde abantu 25 mwe bateeberezebwa okubbira mu nnyanja eno.

Bano bebamu kubantu 34 abaali batambulira ku lyato eryabbira olwómuyaga omungi ogwali ku Nyanja ku lunaku olwo nókutika akabindo.

Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigire ategeezezza bannamawulire olwaleero e Naguru nti ekikwekweto kikyagenda mu maaso.