Amawulire
Emirambo gyábaana abafiira mu Muliro e Mukono gikwasibwa abénganda
Bya Kiguli Diphas,
Gavumenti ya Uganda ng’eyita mu minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo ng’ekiikirirwa minisita ow’eby’enjigiriza ebya pulayimale Dr. Joyce Moriku Kaducu ewaddeyo obukadde bwa sillingi butaano eri buli famire eyafiirwa abaana mu muliro ogwakwata essomero ly’abamuzibe e Mukono wiiki ewedde.
Emirambo gikomezeddwawo olwaleero ku ssomero era minisita agikwasizza famire n’abooluganda okugitwala okuziikibwa mu ngeri esaanira.
Gavumenti ewadde buli famire eyafiirwa omwana obukadde butaano, na kakadde kamu eri abaasimattuka songa na bakyajanjabibwa mu ddwaliro e Kiruddu gavumenti yeyamye okubalabirira.
Minisita era asuubiza okugenda mu maaso n’okuwagira essomero lino okulaba nti lidawo ne litereera.
Minisita Kaducu badde omukungubazi omukulu ng’akiikirira akikiridde Mukyala womukulembeze weggwanga era Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Kataha Museveni.
Omukulu wessomero lino Francis Kinubi asabye gavt okubaddukirira nóbukuumi ate nokufulumya alipoota ku miliro egisse gikwata amasimero nga mwemuli nogwakwata ekizimbe lya Ivory tower ku ssettendekero e Makerere.
Kinubi mungeri yemu avumiridde abantu abettima abalabika okuba nti bebakoleeza omuliro ogwavaako abayizi bessomero lino 11 okufa