Amawulire

Emirambo mu kitoogo

Ali Mivule

January 5th, 2015

No comments

child in Busega

E  Busega abatuuze bagudemu ekyobeera, bwebasabasanze omulambo  gw’omwana wa mutuuze munaabwe nga gusuulidwa  mu kitoogo kye Lubigi.

Ono  amanyidwa nga Kiseka, kigambibwa nti abade atutte ebanga  lya naku biri nga abuze, wabula mutundu lya leero asangidwa nga afiiride mukitoogo

Mungeri yeemu poliisi eriko omulambo gw’omusajja ow’emyaka 24 gwenyuludde okuva mu kitoogo kye Busega.

Kigambibwa nti  William Nsubuga nga mutuuze we  Nsambya Mponye zone abadde abuze okumala ennaku 2 nga era poliisi nebazadde be babadde bali ku muyiggo.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano  Patrick Onyango , omulambo tegusangiddwako binuubule byonna nga era kigambibwa nti yali mulwadde wa mutwe.

Omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro e Mulago okwongera okwekebejebwa.