Amawulire
Emirimu gikyesibye ku kkooti e Nakawa
Emirimu ku kkooti ye Nakawa gikyatambula kasoobo yadde nga babadizza amazzi gebaali baabasalako.
Olunaku olw’eggulo emirimu gyazingamye oluvanyuma lw’akulira abalamuzi ku kkooti eno Lilian Nahamya okwongezaayo emisango gyonna okutuusa nga babadizza amazzi oluvanyuma lw’okumala wiiki 3 nga teri yadde ettondo ly’otuzzi.
Olunaku olwaleero abakozi okuva mu kitongole ky’amazzi n’emidumu gyakazambi bakedde ku ssaawa nga 12 ez’okumakya nebazzaako amazzi gano wabula era teri kitambudde kubanga n’abasibe tebalabiseeko.
Ebbula ly’amazzi lyeyolekedde mu kampala n’emiriraano.