Amawulire

Emisango 6,900 gyegyalopebwa egyokutulugunya abaana abawala

Emisango 6,900 gyegyalopebwa egyokutulugunya abaana abawala

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga ne Ivan Ssenabulya

Minisitule yekikula kyabantu etegezezza nti okuyita mu lukomo lwessimu, Uganda Child Helpline baafunye emisango gyokutulugunya abaana abwala 6,900 nga gino giri waggulu nnyo, bwogerageranya ku misango 120 egyabalenzi.

Kino kibaddewo, wakati wa January ne June, omwaka guno 2021.

Kino kibikuddwa, olwaleero nga Uganda yegasse kunsi yonna okukuza olunnaku lwomwana omuwala.

Bino webijidde ngalipoota ezenjawulo ziraga nti wabaddewo okweyongera mu bikolwa ebyokubawaza abaana, bangi babuuse nembuto mu biseera byomuggalo gwa ssenyiga omukambwe, era okusoma kwabwe kuli mu lusuubo.

Olunnaku luno lukwatiddwa ku mubala, mu lunyanymbe “Digital Generation. Our Generation”.

Mu mwaka gwa 2014, minisitule yekikula kyabantu bakwatagana ne UNICEF nebatekawo ennamba yessimu eyobwerere 116 abantu bayite okwo, okuloopa emisango nebikolwa byonna ebyokutulugunya abaana.

Mungeri yeemu, Encrypt Uganda, banakyewa abatakabanira ensonga zobukuumi ku mitimbagano basabye gavumenti egatte essomo lya Online Safety mwebyo, ebisomesebwa mu masomero ku tekinologiya.

Bano basabye ebitongole bya gavumenti okuli, minisitule yebyenjigirza nemizannyo, ey sayansi ne tekinologiya saako ababaga ebisomesebwa aba National Curriculum Development Centre kino okukirowozaako kubanga obwetaavu webuli.

Akulira emirimu ku Encrypt Uganda nga ye Ssenfuma Brian agambye nti obwetaavu webuli kubanga abantu bangi abongedde okuwettanira okukozesa yintaneeti.

Kino agambye nti kyakuyamba okukuuma abaana, okuva eri ebikolwa ebikyamu ku yintaneti okuli okubalimba nebetaba mu bukaba, okubakukua nebirala.