Amawulire
Emisango emirala 5 giguddwa ku bakuba emotoka ya Museveni
Bya Ruth Anderah, Omulamuzi wa kkooti enkulu mu district ye Gulu aliko emisango emirala 5 gyagudde ku bavunanwa 37 abavunanibwa okukuba emotoka y’omukulembeze w’eggwanga ejjinja mu Arua nga 13 omwezi ogw’omunaana omwaka ogwagwa okuli n’omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ababadde bazeeyo mu Kkooti e Gulu .
Kati emisango gyiweze 7 nga mu kusooka baali bavunanibwa emisango 2 okuli okulya munsi yaabwe olukwe kwossa n’okuba emotooka y’omukulembeze ejinjja.
Mu kkooti ebadde ekubyeko n’amunji w’omuntu omuwaabi wa gavumenti Patrick Omiya ategezza nga emisango gya bano bwegiwandikibwa buto okusobola okwongeramu okukuma omuliro mu bantu.
Mu babadde mu kkooti ye mubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi alias Bobi Wine omubaka wa Mityana Municipality Francis Zaake, Kassiano Wadri kwossa ne musajja mukulu ow’emyak 70 Umar Rasasi n’abalala nga bonna bakwewoozako ku misango gino