Amawulire
Emisango gya Lukwago gyonna giyimiriziddwa
Ensonga za loodimeeya Erias Lukwago zikyalimu kigoye wezinge.
Omulamuzi wa kooti enkulu Yasin Nyanzi kati alagidde nti emisango gyonna egigenda mu maaso mu kkooti enkulu giyimirizibwe okutuuka nga kkooti ejulirwaamu ewulidde okujulira kwa ssabawolereza wa gavumenti.
Ekiragiro lino kikozesezza emisango ebiri nga mu gusooka, loodimeeya awakanya ebiri mu alipoota eyasaba nti bamugobe nga n’omulala gwa ssabawolereza ogusaba nti omulamuzi Nyanzi ave mu misango gya Lukwago kubanga alimu kyekubiira
Ssabawolereza yaddukira mu kkooti ejulirwaamu ng’awakanya ebya Lukwago okudda mu ofiisi era okukkakkana nga Lukwago ono amamuddwa mu ntebe bw’abadde yakamala essaawa ttaano zokka
Bino byagenze okubaawo nga Lukwago yakasuubiza nga bw’atagenda kulwana muntu yenna era n’asaba buli omu okumwegattako okutwala ekibuga mu maaso mu ngeri etaliiko gw’ekosa