Amawulire
Emmotoka esse omwana
Omwana ow’emyaka 12 ekooneddwa motoka emuttiddewo e Lwengo
Omugenzi ategerekese nga Shadiya Nagawa omuyizi mu ky’okuna ku ssomero lya St Ben Primary school erisangibwa e Kiganda Lwengo.
Motoka kika kya Saloon no UAW 689H ebadde ewenyuka obuweewo y’ekoonye omwana ono abadde ava okugula ebintu ku dduuka
Omwogezi wa poliisi mu bukiikaddyo bw’eggwanga Noah Sserunjogi, agamba nti batandise omuyiggo gwa dereeva akoonye omwana n’amalamu omusubi.