Amawulire
Emmotoka etomedde owa Boda boda n’ebakikumako omuliro
Bya Abubaker Kirunda
Abatuuze ababadde abakambwe okukira ennumba wali mu kabuga ke Mafubira e Jinja baliko emmotoka gyebatekedde omuliro, oluvanyuma lwokutomera owa boda boda.
Okusinziira ku yerabiddeko mmotoka eno kika kya Tipa namba UEQ 984/B Ibrahim Mukose bwabadde ku pikipiki namba UEV 335/N nasigalako kikuba ku mukono, era oluvanyuma amae nassaogwenkomereo.
Akabenje kano kagudde ku Almeka stage ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kamuli.
Kigambibw anti omugoba we mmotoka olumaze okutomera, nategeera nti owa boda boda abadde akyali mulamu akomyewo namulinnyra ddala, ekijje abantu mu mbeera.
Akulira ebikwekweto bya poliisi e Jinja Patrick Mugenyi agambye nti omudereva adduse, wabulanga emmotoka abantu kyebakoze kwekujikumako omuliro.