Amawulire
Empaka za top 100 zitongozedwa
Bya Moses Ndahye, Kampuni ya Daily Monitor ngeriwamu ne kampuni ya KPMG batongoza kawefube waabwe owa buli mwaka eyatumibwa Top 100 Mid-sized Companies’ agenderedwamu okunonyerezza butya business bwezisigala nga zikoola wakati muyaga gw’ebyenfuna.
Okunonyerezza kuno okubaawo buli mwaka kukolebwa Daily Monitor wamu ne kampuni ya KPMG, nga kukolebwa ku makampuni agali yaddeyaddeko agawezza enyingiza eri eyo mu bukadde 300 okutukira ddala ku buwumbi bwa kuno 25.
Bwabadde ayogerako mu lukugaana lw’okutongoza kawefuube w’omulundi guno wano mu kampalla akulira Monitor publications Tony Glencross, ategezezza abasuubuzi nga bwe betaaga obumanyirivu obw’okubayamba okulakulanya amakampuni gaabwe ng’alina essuubi nti kawefube ono wa kuyambira ddala amakumpuini amatono nagali yaddeko yaddeko okusoboola okulakulana.