Amawulire

Emyaka 100- omumuli gwa poliisi gutandise okutambula

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Kadaga at acid marathon

Poliisi esuubizza okukozesa emyaka gino ekikumi gyekuza okuweyubula n’okukyuusa ekifanaanyi kyaayo

Olwaleero omumuli gwa poliisi ogugenda okutambuzibwa okuyita mu disitukiti zonna eza Uganda gusimbudde okuva ku poliisi ya jinja Road nga gusookedde mu buvanjuba bw’eggwanga

Aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi y’akoze omukolo gw’okusimbula omumuli guno

Agukwasizza aduumira poliisi mu kitundu ky’obuvanjuba Siraje bakaleke.

Anyonyodde nti mu kaseera kano poliisi ekubiddwa nnyo ettosi mu byenguzi, okuvuluga emisango n’ebirala ebyonoonye erinnya lya poliisi.

Ebikujjuko by’emyaka 100 egya poliisi byafukundikirwa nga 3 omwezi gw’ekkumi.