Amawulire

Emyaka ena abateega bbomu tebabonerezebwanga

Ali Mivule

July 9th, 2014

No comments

bombo suspects

Nga giwera emyaka 4 wiiki eno bukyanga bbomu zitta abantu wano mu kampala, n’okutusa kati abakosebwa n’abafiirwa abaabwe tebanafuna  bwenkanya mu mbuga z’amateeka.

Abantu abasoba mu 70 bafiira mu bulumbaganyi buno ku Kyadondo rugby grounds ne  Ethiopian village wano e Kabalagala abatujju ba Al-Shabab bwebatega bomu mu bawagizi b’omupiira abaali balaba fayinolo z’ekikopo ky’ensi yonna ekyomupiira mu 2010.

Kati myaka ena nga abakwatibwa 12 ku bulumbaganyi tebavunanibwanga oluvanyuma lwa Kkooti etaputa Ssemateeka okuyimiriza okuvunanibwa kwabwe lwa’bantu bano kuwakanya kuvunanibwa mu Uganda nga abasinga bagwira.

Wabula ye omuwaabi wa gavumenti Micheal Chibita agamba bakola buli kisoboka okumaliriza omusangi guno.