Amawulire

Endagaano ziriwa ku bya Buganda

Ali Mivule

June 11th, 2014

No comments

kabaka and Museveni

Ababaka mu lukiiko olukulu olw’eggwanga okuva mu Buganda bagaala endagaano ezaakolebwa wakati wa Buganda ne gavumenti zanjibwe.

Kiddiridde gavumenti  eyawakati okwefuula n’etanula okusaba Buganda ebimu ku byapa ebyagiweebwa.

Ssabawolereza wa gavumenti yeeyategeezezza nga bwebawandiikidde Buganda nga bagisaba ebyapa okuli ettaka ly’abakooki n’abaluuli okubizza kubanga banyini nyo babyagaala

Akulira akabondo k’ababaka okuva mu Buganda Godfrey Kiwanfa agamba nti okusinziira ku bbo kyebamanyi , Katikiro wa Buganda y’alina obuyinza ku ttaka lino , kale nga bwekitaba kityo , endagaano zitaganjulwe okumanya ssabawolereza gy’ajja amaanyi okwogera by’ayagala.

Kiwanda agamba nti kyokka kikyaamu gavumenti okugaba nga bwegabulula kubanga kireetawo entalo