Amawulire

Endagamuntu tezinnatuuka ku miruka

Ali Mivule

December 4th, 2014

No comments

IDs ready

Okugaba endagamuntu kwandiba nga kwatongozeddwa kyokka nga tekunnatandika mu bitundu bya kampala ebisinga
Ku miruka gyonna gyetubadde, abantu abazze okukima kaada zaabwe bagobeddwa.
Muno mwemuli ab’omuluka gwa Mengo 1 , 2 ne Kisenyi era embeera yeemu
Omu ku balina okugaba endagamuntu zino Peter Angumizamu agambye nti bategeezeddwa nti balindemu okutuuka ssabbiiti ejja
Ono azzeemu okujjukiza abantu nti omuntu yenna okuweebwa kaadi ye alina okusooka okuwaayo olupappula kweyewandiisiza era nga n’erinnya lye lirina okubeera ku lukalala lw’abo abawandiisibwa

Wabula omwogezi w’ekibinja ekikola ku nteekateeka z’okugaba endagamuntu Paul Bukenya agamba nti batandikidde mu kibuga wakati nga mu bitundu ebirala bakutuukayo ssabbiiti ejja.
Pulezidenti Museveni yatongozezza okugaba endagamuntu ku lw’okubiri ng’abo bonna abeewandiisa basabiddwa okugenda ku miruka