Amawulire

Endagano ya DP ne NRM erimu ebirumira bingi

Endagano ya DP ne NRM erimu ebirumira bingi

Ivan Ssenabulya

August 15th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abatunulizi bébyóbufuzi mu ggwanga bakubye ebituli mu ndagaano eyakolebwaekibiina kya DP ne NRM eyókolaganira awamu eyassibwako omukono mu July w’omwaka oguwedde.

Endagaano eno yassibbwaako omukono wakati wa pulezidenti w’ekibiina kya Democratic Party Nobert Mao, ne pulezidenti era nga ye ssentebe w’ekibiina kya National Resistance Movement, Yoweri Museveni.

Bwabadde ayogerera mu lukungaana lw’ebyobufuzi mu Kampala olwategekebwa Konrad Adenauer Stiftung (KAS), wansi w’omulamwa; ‘’Elite Bargain Theory, Democracy, Transitional Politics and their implications in the context of the DP-NRM Cooperation Agreement’’, Prof. Julius Kiiza, endagaano eno agyogeddeko ng’ekiwandiiko kya beenonyeza ebyabwe.

Alaze ebimu ku bintu ebikulu ebibula mu ndagaano eno ebikulu mu demokulasiya, ekkubo erigenda mu kukyusa obuyinza mu mirembe n’obulamu obulungi obwabannansi.

Prof. Kiiza, agamba nti ekiwandiiko ekyaterwako omukono tekitegeerekeka bulungi ku ddi enkyukakyuka mu byobufuzi lwegenda okubaawo era etya? Era agambye nti endagaano eno yeesigamiziddwa ku bantu ssekinnoomu ekiteeka DP mu matigga singa pulezidenti w’ekibiina afa mu kaseera kano.

Mungeri yeemu Prof. Kiiza ategeezezza nti endagaano eno tekiikirira Munnayuganda owa bulijjo songa n’ebibiina by’obufuzi nabyo biba bitekeddwa okuweereza abantu.

Awadde ensonga z’obutabaawo nteeseganya wakati wa DP ne NRM ku ky’okutumbula enkola y’ebyobulamu mu ggwanga, enkyukakyuka mu mbeera z’abantu n’ebyenfuna songa bino bye bikulu mu kusitula embeera z’abantu.