Amawulire
Enguudo tezimala- Museveni
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ajjukizza bannaUganda okukomya okuyimba ebintu ng’enguudo buli olukedde nebeerabira nti teri muntu n’omu luguudo gwelugasa kusitula nnyingiza ya mumakage.
Museveni agambye ebitundu ebimu enguudo zizimbiddwa naye abantu bangi bakyeyaguza luggyo obwavu bukyabasibye empeta kwekusaba abantu ezo ennyimba bazifunire olukato baziwummule benyigire nnyo mu mirimu ng’ennina n’obulunzi obwomulembe.
Bino abyogeredde mu lukungaana lwakubye mu bimuli bya mayor mu kibuga ky’e Mubende gyabadde mu kulambula kwaliko okwetoolora eggwanga ng’eno gy’agambidde nti abantu b’e Mubende bangi bayimbanga oluguudo oluva e Mubende okudda e Mityana naye kati emyaka 20 ng’oluguudo luwedde abantu abakyakaaba obwavu n’abamu eky’eggulo bakirunga mu mmindi.
Abazadde abalabudde okukomya engeri gyebawandiikamu ebiraamo byaabwe ng’abasinga bakekejjulidde abaana baabwe ettaka ly’obusika nebafundikira nga balitunze bano ng’abawabudde ku ttaka kuno okukolerako emirimu gy’enkulaanakulana gyebayinza okulekera abaana okusinga okumala gabalekera obwaguuga bw’ettaka elisaliddwamu obulele.
Museveni asookedde mu nkambi y’abakateeyamba eya MRC gyagguliddewo ekkolero elikola ebigulu by’abalema eryazimbibwayo, ng’agguddewo n’ebizimbe ku ssomero lya Kasenyi Sec School wano mu kibuga Mubende ebyazimbibwa mu nteekateeka ya gavumenti ey’okukwasizaako agamu ku masomero agalimu enkola ya gavumenti eya bonnabasome mu masomero aga siniya.
Ku kigo ky’Abaminsani ekya Our Lady of Fatima e Mubende akulebyeyo olubu lw’ekigere ng’eno asiimye omulimu ogukoleddwa abassa ekimu, bwatyo n’awaayo ettofaali lya bukadde 200 lidduukirire okumaliriza akasolya ka Lutikko empya akafuuse ensonga ensangi zino.
Asuubizza okukuba oluguudo oluva e Mubende okudda e Kakumiro mu Kibaale kolaasi okwanguya ebyensuubulagana mu kitundu kino, kyokka nga mu kiseera ng’oluguudo luno telunnaggwa abantu tekyandibagaanye kutambuza mirimu gyaabwe.
Avumiridde nnyo omuze gw’abazadde okulaama nga bayuzaayuza mu ttaka lyabwe mu bintu by’obusika, nti kino kyekisinze okuviirako abasika abasinga okutunda ettaka ly’obusika.