Amawulire

Enguzi yaliremesa ebirubirirwa bya gavt ebya 2030 okutukirira

Enguzi yaliremesa ebirubirirwa bya gavt ebya 2030 okutukirira

Ivan Ssenabulya

December 13th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Uganda People’s Congress kyeraliikirivu olw’obuli bw’enguzi obususse mu ggwanga kye kigamba nti kya bulabe nnyo eri ekirubirirwa kya Uganda ekya 2030.

Ebigambo bya UPC webijjidde nga Uganda ku wiikendi nga 9th December, yeegasse ku nsi yonna okujjukira olunaku lw’okulwanyisa enguzi mu nsi yonna

Olunaku luno lwakuziddwa wakati mu kunoonyereza okupya okwakoleddwa akakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku by’obusuubuzi ku babaka abasoba mu 30 olw’ebigambibwa nti beenyigira mu okubulankanya ssente shs164bn ezaali zigendereddwamu okuliyirira ebibiina by’obwegassi.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina kino mu Kampala, akulira eby’amawulire mu kibiina kya UPC, Faizo Muzeyi asabye gavumenti okulaga obumalirivu nóbwagazi mu kulwanyisa enguzi singa okwolesebwa kwayo okwa 2030 ku biruubirirwa by’enkulaakulana kinaatuukirira.

Ategedde nti mu Uganda obuli bw’enguzi bulemeseza enkola y’okutuusa obuweereza obulungi eri abantu bwe kityo ne kivaako okuzingama mu nkulaakulana y’ebyenfuna n’enkulaakulana y’embeera z’abantu.

Ate Muzeyi yeegayirira gavumenti okuyingiza bannansi mu kulwanyisa enguzi okuyita mu kubasomesa ku kabi akagirimu.