Amawulire
Enkoko zisoba mu 100 zifudde
Abatuuze b’eKabagoma mu disitulikiti ye Ibanda beralikirivu ku kirwadde ekisse ebinyonyi ebisoba mu 1000.
Ssentebe wa Lc ya Ndoragi, Samson Bukiriro agamba ekirwadde kino ekitwaliddemu n’enkoko kisooka kukenenula binyonyi bino minyira n’oluvanyuma nebikotyonkoka ekivaamu okufa.
Bukiriro agamba kyannaku okuba nti ate abinyonyi ebifu biweereddwa embizzi kyagamba kyabulabe eri obulamu bw’omuntu naddala abo abalya enyamma y’embizzi nga abasawo b’ebisolo tebanekenenya mbeera.
Kkyo ekibinja ky’abasawo okuva ku disitulikiti batuuse dda mu bitundu bino nebalabula abantu bano okwewala okulya enkoko okutuusa nga bamaze okumanya obuvo bw’endwadde eno.
Akulira eby’obulamu mu disitulikiti eno Dr. Julius Bamwine akakasizza abatuuze nga bwe baamaze dda okutwala ebinyonyi ebimu okukeberebwa okusobola okusala amagezi okulwanyisa obulwadde buno.
Agamba abalunzi bewale okuwa ebisolo byabwe okuli n’embwa ebinyonyi bino ebifudde wabula babiziike.