Amawulire

Enkola egenda okulungamya ebisale mu masomero ejja

Enkola egenda okulungamya ebisale mu masomero ejja

Ivan Ssenabulya

November 26th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Minisitule y’ebyenjigiriza egamba nti enkola y’okulungamya ensengeka y’ebisale by’amasomero egenda kuba ewedde mu bbanga lya ssabiiti 5 okuva kati oluvannyuma lw’okwebuuza ku bakwatibwako ab’enjawulo.

Bino byogeddwa minisita w’eggwanga ow’ebyenjigiriza ebya waggulu John Muyingo bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti ak’ebyenjigiriza okwanukula ekiteeso ekigenderera okulungamya okwongeza ebisale mu masomero.

Yategeezezza ababaka nti awatali nkola eno  tebasobola kulungamya kunsimbi ezisabibwa abakulu ba masomro era yagambye nti ne ssaabawolereza wa gavumenti yakkiriza ebiragiro ebyakolebwa minisitule.

Agamba nti ebiragiro bino bwe byamala okuyisibwa, kabineti yabasaba okwebuuza ku bakwatibwako ab’enjawulo nga tebinnaba kuteekebwa mu nkola.