Amawulire
Enkolagana ya Uganda ne Bukinafaso yakunywera.
By S samuel Ssebuliba.
Omukulembeze wa Burkina Faso, Marc Christian Kabore ategeezeza nga bwayagala enkolagana wakati wa Uganda ne Bukinafaso eyongere okunywera.
Bwabadde ayaniriza omubaka wa Uganda mu gwanga lino Amb. Nelson Ocheger , president agambye nti amawanga gano galudde nga gakolagana , kale nga kino kigwana okwongera okunyewera.
Ono anokodeyo ensonga nga eby’obusubuzi, eby’okulima, ko n’ebirara nga ebyatega okwongera okunyeera wakati wa Bukinafaso ne Uganda.