Amawulire

Enkuba egoyezza bannakampala- Laddu esse omu

Ali Mivule

August 12th, 2014

No comments

clock tower floods fresh

Enkuba etonnye olw’eggulo lwa leero erese mangi bafumbya miyaga mu kibuga kampala ne mu bitundu by’eggwanga ebirala

Abasinze okukosebwa beebakozesa enkulungo ya Clock Tower nga bano bazifungizza okusala.

Ababadde bagenda ku USAFI bbo batubidde nga tebasobola kutambula.

Wano mu Kampala ekire ky’enkuba akitonye mutuntu lya leero kiresse abayo bafumbya miyagi, enkuba eno esinze kugoya ebitundu omuli Kafumbe Mukasa, kisenyi, namirembe road n’ebirala.

Bano ssibebakoseddwa bokka nga e Kibuli mu zooni ya Kanakulya, emyaala gibooze amazzi negayingirira abantu

Yye etwala eby’okwerinda mu kitundu kino Twaha Lutaaya obuzibu buno abutadde ku ky’okulwaawo okumaliriza oluguudo luno

Yye omwogezi wa KCCA Robert Kalumba agambye nti obuzibu bwonna buva ku bantu abayiwa ebisasiro mu myaala

Nga tuvudde mu kibuga okudda e Mubende enkuba tabakoze bulungi n’akatono ng’ebaasseemu omuntu

Ono laddu y’emusse emusanze mu nju ye