Amawulire

Enkyukakyuuka mu kitongole ekiramuzi

Ali Mivule

July 8th, 2014

No comments

Justice

Essiga eddamuzi likoze enkyukakyuka mu balamuzi ba kkooti ento n’abawandiisi.

Abawerera ddala 27 beebakyusiddwa

Okusinziira ku amyuka omwogezi w’essiga eddamuzi Araali Muhiirwe, enkyukakyuka zino zikoleddwa omuwandiisi wa Kkooti ow’okuntikko  Paul Gadenya okwongera okutambuza bulungi emirimu.

Gadenya awadde bonna abakyusiddwa amagezi okwanguya ku mirimu gyebabadde bakyakolako olwo beyanjula gyebawerezeddwa  nga 4 mu gw’omunaana.

Mu bakyusiddwa kuliko abadde omulamuzi omukulu mu  Kkooti ya Buganda Road Olive Kazaarwe nga ono akuziddwa nga kati y’akola ng’amyuka omuwandiisi akola ku by’okuteekaateekaa n’enkulakula.

Omulamuzi wa Kkooti ye Makindye  Easther  Nambayo akuziddwa nga kati y’amyuka omuwandiisi mu Kkooti enkulu ekola ku by’ettaka.

Joy Bahinguza abadde omulamuzi mu Kkooti ye Mukono atwaliddwa Mityana ate ye Agnes Nkonge abaddeyo n’amuddira mu bigere.

Mary Eleanor Khainza Eleanor abadde omuwandiisi mu Kkooti enkulu nga akola ku misango gyabulijjo atwaliddwa mu Kkooti ejulirwamu era ku ddaala lyerimu.