Amawulire
Ennambika yebisomesebwa empya yaakukola okumala emyaka 3
Bya Damalie Mukhaye ne Gertrude Mutyaba
Gavumenti etegezezza nga bwegenda okuteeka mu nkola enambika yebisomesebwa empya, mu m yaka 3 ejijja.
Gavumenti okuyita mu minisitule yebyenjigiriza nemizannyo nekitongole ekibaga, ebisomesebwa bayanjudde enambika eyakoleddwamu enongosereza, enarungamya okusoma kwabayizi mu bibiina byababattaddemu.
Mu kusooka minisitule yabadde etegezezza ngennambika eno, bwegenda okukozesebwa okumala omwaka gumu.
Kino kitgeeza nti abayizi bajja kuyita bagende mu bibiina ebirala, era basigale nga basomesebwa, mu nambika empya.
Minisita webyenjigiriza nemizannyo Janet Museveni yagambye nti aba S1, S5 naba P1 bebatagenda kusomesebwa mu nnambika eno.
Mungeri yeemu, okusoma kwazeemu, olunnaku lweggulo, oluvanyuma lwemyaka 2 egyomuggalo ku masomero.
Wano mu Kampala, abasomesa baatandise na kubangula bayizi okubazza mu mbeera yokusoma.
Awalala, abasomesa tebakutte ku noni, nga bagambye nti babadde tebanetegeka okuddamu okusomesa.
Ku ssomero lya City High School, abasomesa baatutte obudde obumala nga bawayaamu nabayizi, nga buli omu anyonyola byayiseemu.
Ku ssomero lya Chegere Primary School mu disitulikiti ye Apac, omwana omu yekka yeyazze okusoma okusinziira ku RDC, Emma Ngabirano.
Embeera bwetyo bweyabadde mu disitulikiti ye Nakasogola, ngeno masomero mangi tegafunyeyo wadde omuyizi omu eyazze oksuoma ku lunnaku olwasoose.
Ate poliisi mu disitulikiti ye Bukomansimbi yalemesezza abayizi ku ssomero lya Kabigi Islamic Institute mu gombolola ye Butenga okutandika emisomo gyabwe, lwankaayana eziri mu Basiraamu kw’ani alina okuddukanta essomero lino.
Olunaku lw’eggulo abasiraamu beetemye embale oluvannyuma lw’ekibinja kya Sheikh Haruna Jjemba okulumba Omukulu we Ssomero Fausta Nalugo nga bamulanga okubeera omukatoliki nebamufulumiza ebintu bye wabweru.
Sheikh Haruna Jjemba agugulana ne Sheikh Abdul Jabal Mawanda director w’essomero lino.
Akulira essomero lino Fausta Nalugo atubuulidde nga gavumenti bwesaanye okuyingira mu nsonga zino olw’enkaayana ezitagenda kusobozesa bayizi kusoma.
Abasomesa betusanze bakonkomalidde ebweru wessomero batubuulidde nti tebamanyi kiddako.
Abazadde ku ssomero lino nabo basabye gavumenti eyingire mu nsonga zino ezimaze kumpi emyaka 30 nga teziggwa.