Amawulire

Ennima y’omulembe y’enamalawo obwavu- Kabaka

Ali Mivule

July 31st, 2014

No comments

SSabassaja on the throne new

Ennima y’omulembe kyeky’okuddamu eri obwavu obukutte bannyuganda entegetege

Buno bwebubadde obubaka bwa ssabasajja kabaka mu kukuza emyaka 21 bukyanga atuula ku Namulondo.

Ssabasajja Kabaka asabye abakulembeze ku mitendera egitali gimu okwongera okujjukiza gavumenti ku bwetaavu bw’okugula ebyuuma ebinayamba okulongoosa ku birime olwo n’omulimi alye bulungi

Omutanda era asabye abantu be okujjumbira okulima ebirime ebiri ku katale

Ng’ayogerera ku mukolo gwegumu, Katikkiro Charles Peter Mayiga akunze abaganda okukozesa olunaku luno okutunuulira wa Buganda gy’eva, wa weeri na wa gyeraga

Ku mukolo guno, omutanda asiimye n’atuuza omwami w’essaza lye Mawogola Muteesa Salongo Nsamba