Amawulire
Ensimbi zaawudde mu babaka
Ensimbi zawudde mu babaka ba palamenti abakyala.
Abava ku ludda oluvuganya gavumenti bagamba nti balina obukakafu nti bannaabwe okuva mu NRM baweereddwa emitwaalo ataano okwetaba ku mikolo gy’abakyala egyakaggwa e Kumi.
Ababaka bano era kigambibwa okuba nti bagenda kufuna obukadde obulala butaano okuyisaamu okukuuta akadingidi ka pulezidenti museveni.
Omwogezi wa gavumenti erinze obuyinza, Nabiilah Naggayi agamba nti ebikolwa bya ba nakazadde bano byenyamiza eri ano ababassaamu obwesige.
Nabirah era agamba nti kino kyoleese okuyuza mu ddoboozi ly’abakyala kubanga abamu kati baya enguzi
Wabula amyuka omuwanika wa NRM Rose Nabbanja agamba nti ensimbi zino tezabadde za nguzi nga Nabila bw’abyoogera wabula kwanguyiza babaka mirimu