Amawulire

Ensimbi z’okusomesa abayizi ssi zabwereere

Ali Mivule

April 25th, 2014

No comments

M7 inspects

Minisitule y’ebyenjigiriza ekalambidde nti ensimbi ezigenda okuwolebwa  abayizi okweyongerayo okusoma ssizabwerere.

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni yatongozza enkola eno olunaku olw’egulo yatandise enkola eno n’ekigendererwa eky’okuyamba abaana abava mu maka amankusere okweyongeraro okusoma mu matendekero agawagulu.

Wansi w’enkola eno eno abayizi bakusasula ssente zino mu mwaka gumu nga bamaze okufuna emirimu.

Minister omubeezi ow’amatendekero agawagulu , J.C Muyingo agamba abanalyazamanya ssente zino bakuvunanibwa mu mbuga z’amateeka kubanga kilambikiddwa bulungi ku foomu zebajuza nga bafuna ssente zino.

Wabula bbo abamu ku bakugu mu byenjigiriza ssibamativu nti enkola eno yakuyamba omwana wawansi.

Omu ku bbo  Patrick Kaboyo agamba yadde nga enkola eno nunji abaana baabavu banji bandisubwa omukisa guno olw’okumanyisiba okutono ku nsonga eno.

Ono agamba nti wetagisawo amateeka amakakali aganagobererwa okulaba nga abetavu bokka bebaganyulwa mu nkola eno.