Amawulire
Ensimbi zómuggalo ekitundu ekisooka zifuluma lwakuna
Bya Damali Mukhaye
Ekitundu ekisooka ekyensimbi gavt zeyasuubiza okudukirira bannauganda mu bibuga abakozesebwa ne mbeera eyomuggalo zitandika kyakufuluma ku lwokuna lwa ssabiiti eno nga 8th July.
Bino byogeddwa minisita avunanyizbwa ku kikula kya bantu, Betty Amongi bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku media center mu Kampala.
Amongi, agamba nti abantu abalina okufuna kunsimbi zino emitwalo 2 mu 1,480 beebayingizidwa mu byuma bikali magezi weziweredde ssaawa munana olunaku lwa leero
Wabula minisita ategezeza nti wetutukidde olwaleero nga enkalala za balina okufuna ku nsimbi zino okuva mu Kampala tezinayingizibwa mu byuma bikali magezi olwobuzibu obutonotono bwebafunyemu.
Mungeri yemu Amongi ategezeza nti wetunatukira olunaku lwenkya bajja kuba bamaze okufuna amakati ga bantu abalina okufuna kunsimbi zino
Ebigambo bya minisita bivunudwa minisita avunanyizibwa ku byamawulire chris baryomunsi