Amawulire
Entalo z’abasiraamu zittuse- okusaba kubizadde
Abakulembeze b’abayisiraamu mu ggwanga balangiridde okusaba okwa wamu okugendereddwaamu okusaba nti wabeewo obumu
Omwogezi w’ekitebe ekikulu eky’obuyisiraamu Hajji Nsereko Mutumba agamba nti okusaba kuno kwakubaawo ku lw’okutaano luno ku kampala mukadde.
Mutumba agambye nti abayisiraamu bonna baanirizibwa okwetaba mu kusaba kuno okugenda okutambulira wamu ne juma.
Bano nno babadde balangirira bati nga ne Supreme Mufti Sheikh Zubair Kayongo yesamba okusaba kuno
Supreme Mufti agambye nti abategese okusaba kuno nabo baliko enziro era nga ssi batuufu kwogera ku bumu.
Omwogezi we Kibuli, Sheikh Hassan Kirya nga naye ayogera asabye abakulembeze ba kampala mukadde okuzuula kiki ekivaako okweyawula nga tennapapa kusaba
Sheikh Kirya agambye nti okusaba kuno kwolese okukosa kawefube gwebaliko ne pulezidenti Msueveni okuzzaawo obumu mu basiraamu
Abe Kibuli era basabye aba kampala mukadde okwetondera abasiraamu olw’okuttattana ebintu by’obusiraamu .