Amawulire

Enteekateeka ez’okuziika Apollo Nsibambi Zifulumye

Enteekateeka ez’okuziika Apollo Nsibambi Zifulumye

Ivan Ssenabulya

May 29th, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe ne Prossy Kisakye Enteekateeka ez’okuziika eyali ssabaminista we ggwanga Prof Apollo Nsibambi zifulumye, ono wakuziikibwa ku Lw’okubiri lwa wiiki ejja.

Kino kikakasiddwa ssabaminista w’e ggwanga Dr Ruhakana Rugunda eyalondeddwa omukulembeze w’eggwanga okukulemberamu enteekateeka z’okuziika.

Agambye nti wajjakubaawo okusabira omwoyo gw’omugenzi mu makage e Bulange Mengo akawungeezi ka leero, atenga omulambo gusuubirwa okutwalibwa ne mupalamenti mu lutuula olw’enjuwulo ku lw’okutaano.

Ku Lw’okubiri waakusabirwa mu kanisa e Namirembe ku ssaawa 3 ez’okumakya oluvanyuma aziikibwa e Buloba.

Kati omumyuka wa kattikiro ow’okubiri mu Bwakabaka bwa Buganda, Wagwa Nsibirwa yakiridde Buganda mu ntekateeka zino.

Ate omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni akungubagidde Prof. Apolo Robinson Nsibambi era n’agamba nti yakola nnyo, okumalwo vvulugu eyali yetobeka mu kusasula abakozi e Makerere.

Bw’abadde ayogerako eri abakungubazi mu maka g’omugenzi e Bulange Mengo, ayogedde ku mugenzi ng’omuntu abadde omukozi era eyakola ennyo mu okuzza ebintu bya Buganda.

Omugenzi yasizza ogw’enkomerero olunaku lweggulo mu maka ge e Bulange ku myaka 78.

Ate ab’ekibiina kya UPC nabo bakungubagidde omugenzi, nti baakumusubwa.

Omwogezi w’ekibiina Michael Osinde agambye nti baakumujjukira kubanga abadde musajja mwetowaze, mu bitongole byonna gy’akoledde ate nga abadde musajja wa kigambo kye.