Amawulire
Enteseganya ku loodimeeya zigudde butaka
Enteseganya ezibadde zigenda mu maaso wakati wa gavumenti ne Loodi Mayor Erias Lukwago zigudde butaka.
Bino byasanguziddwa akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Parlaiment Nathan Nandala Mafaabi.
Mafaabi agambye nti gavumenti egaanyi okwetema ku nsonga ezitali zimu nga buli kimu esika ezza waayo.
Ono abadde mu palamenti akawungeezi ka leero
Wabula ate yye ssabaminista Amama Mbabazi agambye nti enteseganya zitambula bukwakku nga baliko webatuuse