Amawulire
Enyonyi y’amaggye egudde
Omwogezi w’amaggye g’eggwanga Lt Col. Paddy Ankunda agamba nti enyonyi eno enywaanyi kika kya L39 ebadde ekozesebwa kutendeka
Ankunda agambye nti okunonyereza kukyagenda mu maaso ku nsonga eno kyokka nga yye munnamaggye abadde avuga akyajjanjabibwa .
Omu ku beerabiddeko n’agage, Robert Ocen agambye nti alabye nyonyi kukka ku misinde era ekiddiridde kwekatta wansi n’ekwata omuliro.
Ocen agamba nti enyonyi eno egudde ku kabuyonjo enkadde era nga tewaliiwo bintu birala byononeeddwa
Yye RDC we Gulu Catherine Lamwaka agambye nti tewali kyeralikiriza bantu kubanga tewali kyamaanyi kyonooneddwa okuleka enyonyi egudde
Mu mwezi gw’okutaano, omwaka guno, enyonyi ya UPDF era yagwa mu kitundu kye Abalo-Kodi mu gombolola ye Atiak mu district ye Amuru n’erumya eyali agivuga.
Enyonyi eno yali eva mu ggwanga lya South Sudan ng’edda e Gulu