Amawulire
Essiga eddamuzi linakangavvula dereeva Stanley Kisambira
Bya Ruth Anderah. Omuwandiisi w’enkalakkalira mu siga eddamuzi Pius Bigirimana ategeezezza nga driver wabwe Stanley Kisambira eyagenze ku mikutu gi mugatta bantu nategeeza abantu nga bwafuna emitwalo 20 ng’omusaala n’ekigenderera eky’okukuma mu bantu omuliro bwagenda okukorwako ng’amateeka bwegalagira.
Stanley Kisambira, ku ntandikwa ya sabiiti eno aliko amaloboozi geyateeka ku mukutu nga gavumilira okusosola okuli u babakulembera bwekituuka mu kubasasula emisaala n’ensako, byagamba nti bitono nnyo ebitasbola nga kumuyamba kubeerawo nga kiteeka n’obulamu bwoyo gwabeera avuga mu katayabaga.
Oluvanyuma, Poliisi yakutte Stanley ku misango egitannategerekeka nga newebutuukidde leero akyaatemeza mabega wa mitayimbwa gya Poliisi.
Kati, Bigirimaana agamba nti amaze okuwandiikira kisambira amunnyonyole ekyamuviiriddeko okukola nga bweyakoze ng’akimanyidde ddala nti balina ekibiina ekibagatta ng aba dereeva ekyandibadde kisobola okukola kukwemulugunya kwe.
Ono era anenya Kisambira olwokulemererwa okutegeeza mukama we gw’abadde avuga Geoffrey Namundi oba okutegeeza yye nga avunanyizibwa ku bakozi b’esiga eddamuzi wabula nasalawo okutattana ekifaananyi ky’esiga eddamuzi.
Ono abadde enkya ya leero ayogerako eri ab’amawulire ku kitebe ky’esigga eddamuzi gyategerezza nga Kisambira bweyayisizza olugaayu mu teeka erifuga eneeyisa y’abakozi ba gavumenti.