Amawulire
Etteeka ku bisiyaga likakasibwa leero .
Olunaku olwaleero omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asuubirwa okuteeka omukono ku teeka erigufuula omusango okulya ebisiyaga mu Uganda.
Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo ategezezza nga eteeka lino bwerigenda okutekebwako omukono mu maka g’obukulembeze bw’eggwanga Entebbe essaawa zigenda kubeera ttaano ez’okumakya.
Omukulembeze w’eggwanga yasooka kugaana kuteeka mukono ku teeka lino, n’alagira wabeewo okusooka okunonyereza okuva eri banasayansi ,era bano bakizuula nga abali b’ebisiyaga bwebatalina kikyaamu ku mitwe gyaabwe era mpaawo azaalibwa nga musiyazi.
Abakulembeze b’amawanga g’abazungu bazze nga bakolokota kko n’okulabula presidenti Museveni obutateeka Mukono ku tteeka lino, nga n’omukulembeze w’eggwanga lya Amerika Barack Obama, yalabula nti eteeka lino lyandikomya enkolagana wakati wa Uganda ne Amerika.
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu nabo bavumirira eky’okuyisa etteeka lino nga bagamba nti lirinyirira eddembe ly’obuntu.