Amawulire

Etteeka ku buseegu livumiriddwa

Ali Mivule

December 20th, 2013

No comments

WOman in shot skirt

Okuyisa ebbago erikugira obusegu mu ggwanga kujjeemu abantu ab’enjawulo omwasi.

Ebbaga lino lyayisiddwa palamenti olunaku olw’eggulo nga lirimu okuwera busikaati obwa mini saako n’okutangaaza ku musango omuntu gwaba azizza bwaba yenyigidde mu kintu ekisasanya  buseegu era amateeka gaba galamula gatya ku nsonga eno.

Wabula ye eyali minister w’empisa nobuntubulamu  Miria Matembe yemulugunya nti  eteeka lino ssi lyabwenkanya eri abakyala.

 Ate ye  omukungu okuva mu kibiina ekirwanirira enkulakulana mu bakyala  Regina Bafaki  agamba okuyisa eteeka ku buseegu ssi kyekisinga okuluma banayuganda era ebibaluma ebilala bingi nga byebyandisoose okukolebwako.

Abamu ku babaka bagamba nti ebbago  lino lyagaziyizza nyo obuseegu nga era lyayingiridde n’eneyisa yabanayuganda eyokubeera n’abantu abeneyisa ezenjawulo awatali kusowagana.

 Wabula ye minister w’empisa n’obuntubulamu  Fr. Simon Lokodo azze awagira ebbago lino nga bwerigendereddwamu okuzza empisa mu bantu .