Amawulire
Etteeka lijja ku masomero ag’obwanannyini
Bya Damalie Mukhaye
Gavumenti eri mu ntekateeka, okutandika okussa mu nkola ennambika eyakolebwa ekwata ku basomesa nabakozi mu masomero gobwannanyini.
Bagala ennambika eno, etandike okukola mu January ngamasomero gaaguddewo.
Bweyabadde ayogerera mu kusunsula abayizi aba S1 ne S5 e Kololo, kamisona owamasomero gobwannayini mu minisitule yebyenjigiriza nemizannyo George Mutekanga yagambye nti amateeka nokulugamya okwakolebwa batandise okubiwerezaako bannayini masomero.
Mu mwaka gwa 2017, agamu ku mateeka agayisibwa kyabuwaze eri amasomero gonna okuterekera abakozi baago NSSF oba mu kitavvu kyabakozi.
Abakozi bonna, batekeddwa okubeera ne kontulakiti, ezitakka wansi wemyaka 2.
Amasomero gatekeddwa okubeera nolukiiko olwawaggulu oba board of governors’ nga lutulako abantu 12, era lutekeddwa kukaksibwa minisitule yebyenjigiriza nemizannyo.
Mungeri yeemu, waliwo ekiteeso ekikyabagibwa abasomesa bonna okufuna omusaala ogufanagana, kababeera abali mu masomero agobwannayini.
Amwulire agomunda galaga nti abakulu mu minisitule yebyenjigiriZa nemizannyo batuula obufofo, okukaanya ku kyenkomeredde ku nsonga eno.
Wabaddewo okwemulugunya nti abasomesa abamu mu masomero agobwananyini basasaulwa bubi, kalenga betaaga okulowozebwako basasulwe ku ssente ezegasa okufananana ne banaabwe abali mu gavumenti.
Kati abamasomero agobwananyini, kino bagamba nti baakuluma nogwengulu okukiwakanya.
Bino byonna kigambibwa nti bigenda kujira mu tteeka erya Private Education Training Policy erinalungamya emiri gyokusoma mu masomero namatendeker agobwananyini.
Omwogezi wa minisitule yebyenjigiriza nemizannyo Dr Dennis Mugimba, tasobose kufunika okubaako byatangaaza.