Amawulire
Etteeka lyetagisa ku bazirwanako
Bya Ben Jumbe
Gavumenti esabiddwa okuvaayo netteeka erikwata kubazirwanako.
Okusaba kuno kukoleddwa ssentebbe wakakiiko ka paamenti akebyokwerinda nensonga zomunda mu gwanga, omubaka Rosemary Nyakikongoro.
Amagye gegwanga, gaatandise ku ntekateeka yokuwandiika nokutereeza enkalala zabazirwanako.
Nyakikongoro agambye nti waliwo abazirwanako bangi mu biti ebyenjawulo, naye tewali nkola nambulukufu enyonyola ku bibakwatako nakasiimo akatekeddwa okubaweebwa.
Agambye nti ssinga waberawo etteeka, kijja kuyamba okumalawo okwemulugunya okungi nokubulankana kwakasiimo kabazirwanako.