Amawulire

Ettendekero lye Ndejje liggaddwa

Ali Mivule

November 20th, 2014

No comments

Ndejje university

Ettendekero lye Ndejje liggaddwa okumala ebbanga eritali ggere.

Kiddiridde abayizi okwekalakaasa nga bawakanya eky’okwongeza ebisale.

Mu nsimbi ez’ongezeddwa kwekuli ez’okuddamu empappula okuva ku mitwalo 5 okudda ku 10 ate ng’okwewandiisa okukola ebigezo kati bakusasula emitwalo 20 okuva ku mitwalo 10.

Abayizi bagamba nti zino nyingi nnyo tebazisobola

Bbo nno ab’ettendekero balabye tebabisobole, kwekuggala ettendekero era ng’abayizi bonna bawereddwa essaawa bbiri okwamuuka ettendekero lino.

Yye omwogezi wa poliisi erudda eyo Lameck Kigozi agamba nti webaali okukuuma emirembe nga bulijjo