Amawulire
Eyabba emmotoka bagumusingisizza
Bya Ruth Anderah
Agambibwa okubba emmotoka ya mukamawe, nakwatibwa ng’ajivuga ku Salaama Road wano mu Kampala, kkooti ku City Hall emusingisizza omusango.
Sendaula Peter omulamuzi Valerian Tuhimbise yamusingisizza omusango oluvanyuma lw’okwekenenya obujulizi obwaleetebwa oludda oluwaabi nakizuula nti omusango ddala yaguzza.
Kati omulamuzi ataddewo olunaku olwanga 19 August amuwe ekibonerezo ekimugwanidde.
Ono omusango yaguzza nga 7 February 2019 e Kololo, bweyabba emmotoka ya mukama we Bagarukayo Rogers, ekika kya premio.
Mmotoka eno kigambibwa nti yali ebalirirwamu obukadde 15.