Amawulire
Eyafuyiis ku kkubo bamusalidde emitwalo 4
Bya Ruth Anderah
Owa boda boda alagiddwa okusasula engasi ya kooti ya mitwalo 4 oba okusibwa emyezi 2 mu kkomera olwokufuka mu lujudde.
Habib Ashrafowemyaka 26 nga mutuuze we Kinawataka asimbiddwa, mu kooti yekibuga etuula ku City Hall mu maaso gomulamuzi we ddaal erisooka Valerian Tuhimbise, nakiriza emisango egimuvunaniddwa okwefuula ekitagasa.
Oludda oluwaabi lugamba nti omuvunanwa, nga July 12th 2019 awo ku Lugogo yefuiula ekingiringiri nafuyisa ku mabbali ge kkubo emisana ttuku.