Amawulire

Eyagenze okusala omuddo afiridde mu kisenyi

Ivan Ssenabulya

July 23rd, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

Poliisi ye Mitete mu district ye Sembabule etandise okunonyereza ku nfa yomusajja owmeyaka 33 omulambo gwe ogwasangiddwa mu lusaalu.

Omugenzi ye Moses Kafuuma omutuuze ku kyalo Kyabakaga mu gombolola ye Mitete.

Omugenzi kigambibwa nti baasembye okumulaba akaungeezi akayise, naggenda okusala omuddo okubikka ennimiro ye, baalabye takomawo kwekufunamu okutya.

Ssentebbe we kyalo nga ye Simple Ssemombwe agambye nti bagenze okutukayo basanze mulambo.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Masaka Paul Kangave, akakasizza okufa kwono, era nasubiza nti okunonyereza kutandise.