Amawulire

Eyasobya ku mu Japan gumusinze

Eyasobya ku mu Japan gumusinze

Ivan Ssenabulya

August 3rd, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah, Kkooti enkulu mu Kampala eriko omuvuzi wa bodaboda gw’esingisiza omusango gw’okusobya ku mukazi munnansi we Japan

Falid Kasadha yasingisidwa omusango gwokusobya kumukazi oluvanyuma lwobujulizi bwonna okumulumika nti yaguza.

Oludda oluwaabi nga lukulembedamu Harriet Nakigozi lugamba nti nga 18th may 2018 omukyala yapangisa kasada okumutwala e bbunga ku luguudo lw’e Gaba wabula ye namutwala e Kawanda mu district ye Wakiso eyo gyeyamwekakatikirako n’amusobyako

Oludda oluwabi lusabye kkkooti ono aweebwe ekibonerezo ekikakali olw’omusango gweyaza kuba kino kityoboola ekolagana ya Uganda ne japan.

Omulamuzi atadewo ennaku zomwezi nga 6 ngolunaku lwanamuwerako ekibonerezo