Amawulire
Eyasobya ku mwana owémyaka 4 esibiddwa emyaka 34
Bya Ruth Anderah,
Abalamuzi ba kkooti ejjulirwamu 3 bakakasuzza ekibonerezo ky’e myaka 34 ekyawebwa omusajja owemyaka 47 oluvanyuma lwokusingisibwa omusango gwokusobya ku mwana owemyaka 4 gyoka ate namusiiga nakawuka akaleete siriimu.
Benywanira Emmanuel myaka 47 nga 13th April 2018 omulamuzi wa kkooti enkulu e Rukungiri Moses Kazibwe Kawumi yamusingisa omusango era namuwa ekibonerezo kyakukola busibe okumala emyaka makumi 35.
Wabula omusajja ono teyamatira nansalawo ya kkooti enkulu e Rukungiri ng’agamba ekibonerezo ekyamuwebwa kyali kinene nyo.
Kati abalamuzi 3 Christopher Gashirabake, Muzamiru Kibeedi ne munabwe Oscar John Kihika bakiriziganyinza ne munabwe owa kkooti enkulu nebamulagira akole ekibonerezo ekyamuwebwa akimaleyo.
Bagaseeko nti enjawulo wakati we myaka 47 ne myaka 4 yali nenenyo ate nga obulamu bwomwana ono bwakendeera oluvanyuma lwokumusiiga akawuka akaleeta mukenenya ku myaka emito bwejityo.
Wabula omusajja ono wakukola ekibonerezo kya myaka 32 oluvanyuma lwokumusalirako myaka 3 jeyali amaze mu kkomera ku alimanda nga tanasalibwa musango.
Kigambibwa omusango yaguzza nga October 30th 2015 e Rukungiri jjajja w’omwana ono bweyali akedde nyo okugenda mu ddwaliro nga mulwadde naleka muzukuluwe nga yebase.