Amawulire
Eyasomola ebyaama bya Kaihura akyatoba
Okuwulira omusango gw’omuserikale wa poliisi agambibwa okusomola ebyama bya mukamawe era ssenkagale wa Poliisi Gen Kale Kayihura kugudde butaka.
Omusango guno gubadde gulina okuddamu okuwulirwa oluvanyuma lwa kkooti enkulu okulagira guwulirwe nga bannamawulire bakwaata buli kigenda mu maaso.
Waliwo ekibinja ky’abannamawulire abekubira enduulu mu palamenti nga bawakanya okugobwa mu kkooti nga Ronald Poteri avunanibwa era byobba ebyasooka okuwulirwa nebisazibwamu.
Munnamateeka wa gavumenti Lino Anguzu ategezezza nga bwataafuna kiragiro kyonna kuleeta bajulizi mu kkooti wabula nga yye omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Lillian Bucyana ategezezza nga kkooti bweyafuna ekiragiro kino era nekiweebwako ne ssabawolereza wa gavumenti.
Oludda oluwaabi olwagavumenti kati lurina okuzza abajulizi 5 abaawa obujulizi gyebuvuddeko nga kuliko Stephen Kataratambi nga ono y’amyuka ekitongole kya poliisi ekikola okunonyereza mu ggwanga.