Amawulire
Eyasomola ebyaama ku Kaihura avunaanibwa mu nkukutu
Okuwulira omusango gw’omusirikale wa Poliisi agambibwa okusomola ebyama bya ssabapoliisi w’eggwanga Ronald Poteri kugenda maaso mu Kkooti ya Buganda Road , wabula nga temukiriziddwa banamawulire
Kino kiddiridde omuwabi wa Gavumenti Lino Anguzo okusaba ebigenda maaso byonna bikwatibwe ku katambi kubanga ensonga eno muziziko munene eri eby’okwerinda by’eggwanga kale nga kiyinza okuletawo olukonko wakati wa Palamenti ne Poliisi.
.Anguza agamba bafunye dda abajulizi babiri abagenda okulumiriza omuvunanwa yadde nga munnamateeka we Vincent Mugisha awakanya eky’okuvunana omuntu we nga temuli bamawulire , omulamuzi Lilian Buchana kyaganye.
Poteri avunanibwa kusomola byayogerwa ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kaihura ebigambibwa nti byakalebule eri ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi.