Amawulire

Eyasudde omwaana omuwere mu kabuyonjo Poliisi emukutte

Eyasudde omwaana omuwere mu kabuyonjo Poliisi emukutte

Ivan Ssenabulya

April 13th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Poliisi e Kasangati eriko omwana omuto gwenyuludde okuva mu kinnya kya kabuyonjo ono nga kigambibwa nti yasuuliddwamu omuwala omukozi w’omudduuka mu kitundu ekyo ategerekekse nga Winnie Namulemba.

Kiddiridde mukama we Blenda Bulyaba okwekubira enduulu ku Poliisi, ng’omukozi we  abadde asulirirwa okuzaala ate bweyasangiddwa nga talulina ate nga n’omwana tamulina.

Ono oluvanyuma lw’okumukazakkaza, yasobodde okubatwala mu kabuyonjo gyebasanze ng’omwaana ono akaaba nabo abayanguye okutegeeza Poliisi.

Amyuka ayogerera Poliisi mu Kampala n’emiliraano Luke Oweyesigire  agambye nti oluvanyuma lw’omwaana ono okujjibwayo, basoose mutwalako mu kalwaliro akali akumpi aka Hands of Love Medical Centre oluvanyuma gyebamujje okumwongerayo mu dwaliro ekkulu e Mulago.

Agamba nti Namulemba agenda kugurwako omusango gw’okugezaako okutta omwana.