Amawulire
Eyatta ekkumi asibiddwa emyaka 90
Omujaasi w’eggye lya UPDF eyakuba mu bantu amasasi ne gattako 10, asibiddwa emyaaka 90.
Ku myaka 90 gino Private Patrick okot gyasibiddwa a 65 gyakutta okutta abantu, okugezaako okutta abantu saako nokubbisa eryaanyi , emyaaka 25 gyakulemererwa okukuuma ebintu byamaje.
Sentebe wa kooti yamaje etude e bombo Brigadier Fred Tolit, bwabadde amuwa ekibonerezo kino ategeezezza nga okot bwali omujaaasi omutendeke nga mu kifo kyokukuuma abantu nebintu byaabwe yabakuba masasi nabatta.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Captain Fredrick Kangwamu lubadde lusabye okot asalibwe gwa kutibwa olwobutalaga bwetowaze nga omusango gugenda mumaaso nenga gumaze okumusingisibwa .
Wabula Tolit ategeeezezza nga ekibonerezo kyokutibwa bwekitali kyabuwaze.
Ono agambibwa okukuba mu bantu amasasi nga March 8 mu kabuga k’e Bombo n’attirawo abantu 10 saako okulumya abalala.