Amawulire
Eyatta mukwano gwe wakwebaka mu nkomyo emyaka 20
Bya Ruth Anderah,
Omusajja agambibwa okutta mukwano gwe oluvanyuma lw’okufuna obutakaanya mu baala asibiddwa emyaka makumi 20.
Sabiiti Nelson ekibonerezo kyemyaka makumi 20 kimuwereddwa abalamuzi 3 aba kkooti ejjulirwamu oluvanyuma lwokusazaamu eky’emyaka 27 ekyali kimuwereddwa kkooti enkulu eya Kabale nga ekulembeddwamu omulamuzi , Moses Kazibwe Kawumu.
Kigambibwa nga September 12th 2917 omulamuzi wa kkooti enkulu e Kabale yasalira sabiiti ekibonerezo okyokukola obusibe bwamyaka 27 naye najjulira ng’agamba kyali kimuyinze.
Era kkooti ejjulirwamu ekkiriziganyizza ne Sabiiti nyi ekibonerezo kyali kinene era neragira akole emyaka makumi 20, wabula neyongera nesalako emyaka 5 jeyali amaze ku alimanda nga tanasalirwa musango nasigazaawo emyaka 15 gyoka.
Oludda oluwaabi lwakakasa nti nga August 28th 2012 ku kyaalo Kabagara mu District ye Kisoro, mubumenyi bwamateeka omuvunanwa ng’akigenderedde yatta Ntirengaya Wilberforce oluvanyuma lwokulwanira mu baala nga bafunyemu obutategeragana.