Amawulire
Eyatta omulambuzi asibiddwa emyaka 30
Kkooti y’amaggye etuula e Makindye aliko omusajja gw’esindise mu kkomero yebakeyo emyaka 30 lwakutta mulambuzi ku lusozi lwa Elgon.
Fred Kipsang y’asibiddwa emyaka 30 ate nga banne abalala basatu okuli Chepkrui Kamada , Chebles Patrick ne Moses Chemtai bbo basibiddwa emyaka 10 lwakukolagana n’omutemu omutta munnansi wa Belguim Van De Venster ng’ono bamukuba masasi
Omuwaabi wa kkooti eno Fredrick Kangwamu aleese abajulizi 9 okulumiriza abasajja bano era nga bano babalumiriza n’okutunda eby’okulwanyisa.
SSentebe wa kkooti eno Brig. Moses SSentongo Ddiba agambye nti ebikolwa by’abatemu bano byebimu ku bigoba abalambuzi era ng’abawadde ekibonerezo kinene okulabula abalala abayinza okukola kino.