Amawulire

Eyatta omuntu asibiddwa emyaka 50

Eyatta omuntu asibiddwa emyaka 50

Ivan Ssenabulya

May 27th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Kkooti enkulu e Mukono eriko omusajja gw’esindise mu nkomyo yebakeyo emyaka 50 oluvanyuma lw’okusingizibwa omusango ogw’okutta omuntu

Omuvunaanwa ye Peter Bukenya ow’emyaka 49, nga yeyali ow’ebyokwerinda ku kyalo Tagoye mu district y’e Kayunga.

Omuwaabi wa gavumenti George Bigirwa ategezezza kkooti nga Bukenya bweyatta Siraje Kayondo eyali ow’emyaka 37 nga 23 mu March wa 2013.

Anyonyodde nti yamuteega namutematema ku mutwe namutta, ngentambwe yava ku kumulumiriza nti mulogo.

Munnamateeka w’omuvunaanwa Emmanuel Turyomwe abadde nga gwegwali omulundi gwe ogusooka okuzza omusango.

Wabula bwabadde amuwa ekibonerezo, Omulamuzi Margret Mutonyi agambye nti Bukenya asaanye ajjibwe mu bantu kubanga wabulabe.